Isaiah 34:2-8

2 a Mukama anyiigidde amawanga gonna,
ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna.
Alibazikiririza ddala,
alibawaayo okuttibwa.
3 bAbantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n’emirambo gyabwe giriwunya,
n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 cEmmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.

5 dWeewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 eEmbogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.

8 f Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
Copyright information for LugEEEE